Ecclesiastes 11

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

1 aSiganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

3Ebire bwe bijjula amazzi,
bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4Oyo alabirira embuyaga talisiga;
n’oyo atunuulira ebire talikungula.

5 bNga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.

6 cKu makya siga ensigo zo,
n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
zino oba ziri,
oba zombi ziriba nnungi.
7 dEkitangaala kirungi,
era okulaba ku musana kisanyusa.
8 eKale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
nnyingi ezijja.
Ebyo byonna ebijja butaliimu.

9 fOmuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
Katonda agenda kukusalira omusango.
10 gNoolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,
kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
Copyright information for LugEEEE